translation
dict
{ "translation": { "en": "The public is advised to follow the president's guidelines on Coronavirus.", "lg": "Abantu bakubiriziddwa okugoberera ebiragiro by'omukulembeze w'egwanga ku kawuka ka ssennyiga omukwambwe.." } }
{ "translation": { "en": "The goalkeeper shocked everyone when he caught the ball.", "lg": "Omukwasi wa goolo yeewuunyisa buli omu bwe yakwata omupiira ogwo." } }
{ "translation": { "en": "two people have been arrested for illegal border crossing.", "lg": "Abantu babiri bakwatiddwa olw'okusala nsalo mu bumenyi bw'amateeka." } }
{ "translation": { "en": "My husband converted the third bedroom into a home office.", "lg": "Baze ekisenge ekisulwamu ekyokusatu yakifuula woofiisi y'awaka." } }
{ "translation": { "en": "The land belonged to the village chairperson.", "lg": "Ettaka lyali lya ssentebe w'ekyalo." } }
{ "translation": { "en": "The ministry has provided advice to farmers on how to plant cassava.", "lg": "Minisitule ewadde abalimi amagezi ku nsimba ya muwogo." } }
{ "translation": { "en": "Concerned residents tip-off the police when they find suspects.", "lg": "Abatuuze abafaayo batemya ku poliisi bwe basanga abateeberezebwa." } }
{ "translation": { "en": "He built an apartment building in a road reserve.", "lg": "Ennyumba yagizimba ku kibangirizi ky'ekkubo." } }
{ "translation": { "en": "His team won one match after being defeated twice.", "lg": "Ttiimu ye yawangula omupiira gumu oluvannyuma lw'okuwangulwa emirundi ebiri." } }
{ "translation": { "en": "The district provided tax holidays to local investors to encourage trade in the area.", "lg": "Disitulikiti yawummuza okugyako omusolo eri bannansi abasiga nsimbi okukubiriza eby'obusuubuzi mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Officials at the launch of the water recovery plant.", "lg": "Abakungu bali ku mukolo gw'okuggulawo ekyuma ekikekkereza amazzi." } }
{ "translation": { "en": "Family and friends can visit.", "lg": "Abooluganda n'emikwano basobola okukyala." } }
{ "translation": { "en": "The police fired teargas at the people who were demonstrating", "lg": "Poliisi yakubye omukka ogubalagala mu bantu abaabadde beekalakaasa." } }
{ "translation": { "en": "We promise to offer you the best meals.", "lg": "Tukusuubiza okukuwa emmere esingayo obulungi." } }
{ "translation": { "en": "Forests are good tourist attractions.", "lg": "Ebibira bifo birungi mu kusikiriza abalambuzi." } }
{ "translation": { "en": "She lost her mother last year.", "lg": "Yafiirwa nnyina omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "He gave some money to his neighbor who lost his job during the lockdown.", "lg": "Muliraanwa we eyafiirwa omulimu gwe mu muggalo yamuwaayo ku ssente." } }
{ "translation": { "en": "The residents demanded that a bridge be constructed over the river.", "lg": "Abatuuze baasabye olutindo luzimbibwe ku mugga." } }
{ "translation": { "en": "Cattle theft across Bunyoro has been on the rise for the past two years.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "She hangs out with her friend over the weekend.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The patients must swallow their medicine on time.", "lg": "Abalwadde balina okumira eddagala lyabwe mu budde." } }
{ "translation": { "en": "The leader is working with health workers and schools to improve hygiene and sanitation.", "lg": "Omukulembeze akola n'abebyobulamu wamu n'amasomero okulongoosa eby'obuyonjo." } }
{ "translation": { "en": "The program was not performing based on its regulations.", "lg": "Puloogulaamu yali tekola kusinziira ku mateeka gaayo." } }
{ "translation": { "en": "Babies should be immunized.", "lg": "Abaana abato balina okugemebwa." } }
{ "translation": { "en": "Informed sources described how the assailants pounced on Burundian soldiers on Mount Twinyoni.", "lg": "Ensonda enneekusifu zanyonnyodde engeri abatujju gye baazinduukirizzaamu abajaasi ba Burundi ku lusozi Twinyoni." } }
{ "translation": { "en": "Why should a mobile money transfer be cancelled?", "lg": "Lwaki entabuza ya ssente ku mobayiro mane kusazibwamu?" } }
{ "translation": { "en": "People are advised to live in a clean environment to avoid diseases such as typhoid.", "lg": "Abantu baweebwa amagezi okubeera mu bifo ebiyonjo okwewala endwadde ng'omusujja gw'omu byenda." } }
{ "translation": { "en": "The president has over one hundred advisors.", "lg": "Pulezidenti alina abawabuzi abasoba mu kikumi." } }
{ "translation": { "en": "The leaders have failed to provide solutions to challenges faced by fishermen.", "lg": "Abakulembeze balemereddwa okuwa amagezi ku bisoomooza abavubi bye basanga." } }
{ "translation": { "en": "The chief of police has an explanation for the increasing crime rate.", "lg": "Akulira poliisi alina okunnyonnyola ku nsonga lwaki obuzzi bw'emisango bweyongedde." } }
{ "translation": { "en": "The students are attending a seminar on how to save for the future.", "lg": "Abayizi bali mu musomo ogukwata ku ngeri y'okweterekeramu ku lw'ebiseera eby'omu maaso." } }
{ "translation": { "en": "\"When her husband left, the thieves attacked the home.\"", "lg": "Omwami we bwe yagenda ababbi ne balumba amaka." } }
{ "translation": { "en": "\"When I opened my eyes, tears fell down.\"", "lg": "\"Bwe nnazibula amaaso, amaziga gannyunguka.\"" } }
{ "translation": { "en": "The visitors were speaking in French.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The company opened a case against him.", "lg": "Kampuni yamuggulako omusango." } }
{ "translation": { "en": "The president vowed to fight corruption.", "lg": "Pulezidenti yeerayiridde okulwanyisa obukenuzi." } }
{ "translation": { "en": "She started as a track runner and in 1998 she represented Uganda.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Giving a court date depends on a number of issues", "lg": "Kkooti okuwa olunaku kisinziira ku nsonga nnyingi." } }
{ "translation": { "en": "He was suspended for slapping one of the opponents during yesterday's match.", "lg": "Yayimiriziddwa olw'okukuba omu ku bazannyi b'oludda olubavuganya mu muzannyo gw'eggulo." } }
{ "translation": { "en": "The government was praised for its work towards family planning.", "lg": "Gavumenti yatenderezeddwa olw'omulimu gwayo eri enkola ya kizaalaggumba." } }
{ "translation": { "en": "The hospital runs effectively despite the number of staff available.", "lg": "Eddwaliro litambula bulungi si nsonga omuwendo gw'abakozi abaliwo." } }
{ "translation": { "en": "The leaders should use their gifts to transform lives.", "lg": "Abakulembeze balina okukozesa ebirabo byabwe okukyusa obulamu." } }
{ "translation": { "en": "She founded the organization for the wives of the members.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Church leaders should support their Christians even outside the church.", "lg": "Abakulembeze b'ekkanisa balina okukwatirako ku bakulisitaayo baabwe ne wabweru w'ekkanisa." } }
{ "translation": { "en": "The house is smelling paraffin.", "lg": "Ennyumba ewunya amafuta g'etaala." } }
{ "translation": { "en": "It is a must to tighten your seat belt when you board a plane.", "lg": "Oteekwa buteekwa okunyweza omusipi gwo ogw'oku ntebe ng'oli mu nnyonyi." } }
{ "translation": { "en": "Four years back he was a poor man.", "lg": "Emyaka ena emabega yali musajja mwavu." } }
{ "translation": { "en": "The United States of America does not jail journalists for doing their work.", "lg": "Amerika tesiba bannamawulire olw'okukola emirimu gyabwe." } }
{ "translation": { "en": "People sleep to get rest from a long day's work.", "lg": "Abantu beebaka okutoowoolokoka mu mirimu gy'olunaku." } }
{ "translation": { "en": "Uganda had one silver medalist in the Tokyo Olympics this year.", "lg": "Uganda yalina omuntu omu yekka eyafuna omudaali ogwa ffeeza mu mpaka za olimpiki ezaali mu Tokyo omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "Our houses are leaking.", "lg": "Ennyumba zaffe zitonnya." } }
{ "translation": { "en": "Some corrupt police officers were arrested.", "lg": "Abamu ku bakungu ba poliisi abakenuzi baakwatibwa." } }
{ "translation": { "en": "All the crops in the area dried up due to drought.", "lg": "Ebirime byonna mu kitundu byakala olw'ekyeya." } }
{ "translation": { "en": "The different stakeholders met to discuss medical challenges in villages.", "lg": "Abakwatibwako ensonga ab'enjawulo baasisinkanye okubaganya ebirowoozo ku kusomoozebwa ku by'ekisawo mu byalo." } }
{ "translation": { "en": "She completed her degree from Makerere University.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Bugala Island in Kalangala district and Koome Island in Mukono district are the biggest.", "lg": "Ekizinga ky'e Bugala ekisangibwa mu disitulikiti y'e Kalangala n'ekizinga ky'e Koome ekisangibwa mu disitulikiti y'e Mukono bye bisinga obunene." } }
{ "translation": { "en": "The people have a high purchasing power which encourages business in the area.", "lg": "Abantu bagula nnyo ekintu ekitumbula bizinensi mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "People will get opportunities to participate in income-generating activities.", "lg": "Abantu bajja kufuna omukisa okwetaba mu mirimu egivaamu ssente." } }
{ "translation": { "en": "Who was the first president of Uganda?", "lg": "Ani yali pulezidenti wa Uganda eyasooka?" } }
{ "translation": { "en": "Is it normal for businessmen to get loans from the bank?", "lg": "Kya bulijjo abasuubuuzi okwewola mu bbanka?" } }
{ "translation": { "en": "Some stones are used in construction.", "lg": "Amayinja agamu gakozesebwa mu kuzimba." } }
{ "translation": { "en": "Authorities should come up with strategies to manage garbage in towns.", "lg": "Aboobuyinza balina okuvaayo n'empenda okukwasaganyaamu ebisasiro mu bibuga." } }
{ "translation": { "en": "The prisons are very congested.", "lg": "Amakomera gabooze." } }
{ "translation": { "en": "\"In such a situation, coping with the substitute product becomes the number one key priority.\"", "lg": "\"Mu mbeera ng'eyo, kiba kikulu okumanyiira ekyo ekiba kizze mu kifo kyakyo.\"" } }
{ "translation": { "en": "The children started crying when their parents left.", "lg": "Abaana baatandise okukaaba nga bazadde baabwe bagenze." } }
{ "translation": { "en": "You have to pay back my money.", "lg": "Ssente zange olina okuzisasula." } }
{ "translation": { "en": "\"During the lockdown, everyone was required to stay at home.\"", "lg": "Mu kiseera ky'omuggalo buli omu kyali kimwetaagisa okubeera awaka." } }
{ "translation": { "en": "A fence was built around the university to mark its boundaries.", "lg": "Baazimba ekikomera okwetooloola yunivaasite okulamba ensalo zaayo." } }
{ "translation": { "en": "Some organizations have a toll-free line on which the public can be served.", "lg": "Ebitongole ebimu birina amasimu agatasalibwako ssente abantu kwe basobola okuyita okuweerezebwa." } }
{ "translation": { "en": "Her mother was the firstborn.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Everyone usually has a different story about the deceased.", "lg": "Buli muntu atera okubeera n'emboozi ey'enjawulo ku mugenzi." } }
{ "translation": { "en": "An industry analyst told Reuter news agency that cement volumes in Kenya grew by nine percent.", "lg": "Omutunuulizi w'ebyamakolero yagambye Reuter news agency nti obungi bwa sseminti mu Kenya bwalinya n'ebitundu mwenda ku buli kikumi." } }
{ "translation": { "en": "My wife earns more money than I do.", "lg": "Mukyala wange afuna ssente nnyingi okunsinga." } }
{ "translation": { "en": "The favorite way offloading houses built through mortgage financing is now popular.", "lg": "Engeri esingayo okweggyako amayumba agazimbiddwa ku nkola ey'okufuna ebbanja." } }
{ "translation": { "en": "\"Currently, we are not facing any challenges with the water supply.\"", "lg": "\"Olwaleero, tetulina kizibu kyonna na mazzi.\"" } }
{ "translation": { "en": "Some companies have collapsed due to conflicts among the management.", "lg": "Kampuni ezimu zigudde olw'obutabanguko mu baziddukanya." } }
{ "translation": { "en": "Those who were arrested for protesting against the ruling party have been released.", "lg": "Abo abaakwatibwa olw'okuwakanya ekibiina ekiri mu buyinza bateereddwa." } }
{ "translation": { "en": "The truck carrying the pineapples will arrive in thirty minutes.", "lg": "Ekimotoka ekyetisse ennaanansi kijja kutuuka mu ddakiika amakumi asatu." } }
{ "translation": { "en": "My mother instructed me to carry a pen when going to any office.", "lg": "Mmange yandagira ntambulenga n'ekkalaamu ya bwino nga ŋŋenda mu woofiisi yonna." } }
{ "translation": { "en": "He won a gold medal from the Olympics race competitions.", "lg": "Yawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka za olimpiki." } }
{ "translation": { "en": "He forced her to do his work when she did not want to.", "lg": "Yamukaka okukola emirimu gye nga tayagala." } }
{ "translation": { "en": "How did you get those injuries?", "lg": "Wafunye otya obuvune obwo?" } }
{ "translation": { "en": "One side of his cheek was swollen.", "lg": "Oludda olumu olw'ettama lye lwali luzimbye." } }
{ "translation": { "en": "Automakers say that the three are based on designing the car around the human being.", "lg": "Abakozi b'emmotoka bagamba nti ebisatu byesigamizibwa ku kuwunda emmotoka okusinziira ku muntu." } }
{ "translation": { "en": "Senior staff from different media houses were fired over misconduct.", "lg": "Abakozi abakulu okuva mu bitongole by'amawulire eby'enjawulo baagobebwa olw'empisa ensiiwuufu." } }
{ "translation": { "en": "Uganda's military expenditure has exponentially increased in twenty-eighteen.", "lg": "Ensasaanya ya ssente ey'amagye ga Uganda erinnye nnyo mu nkumi bbiri kkumi na munaana." } }
{ "translation": { "en": "The contacts of the patients were left to go.", "lg": "Abantu b'abalwadde baalekebwa ne bagenda." } }
{ "translation": { "en": "She drank a cold glass of juice because she was thirsty.", "lg": "Yannywa giraasi y'omubisi ogunyogoga olw'okuba ennyonta yali emuluma." } }
{ "translation": { "en": "Men should respect and care for their wives.", "lg": "Abasajja bateekeddwa okussa ekitiibwa n'okulabirira bakyala baabwe ." } }
{ "translation": { "en": "\"The exhibition opened on nineteenth November at the Uganda Museum, Kampala\"", "lg": "Omwoleso gwaggulawo ku kkumi na mwenda Ogwekkumi n'ogumu ku tterekero ly'ebyobuwangwa mu Kampala." } }
{ "translation": { "en": "My son has picked up some nasty words from his school.", "lg": "Mutabani wange ayize ebigambo ebyobuseegu ku ssomero lye." } }
{ "translation": { "en": "Who are the vulnerable people in the community?", "lg": "Mu kitundu kyammwe b'ani abeetaaga obuyambi?" } }
{ "translation": { "en": "What makes you best suited for that job?", "lg": "Ki ekikufuula asinga okusaanira omulimu ogwo?" } }
{ "translation": { "en": "The government gets revenue from tourism every year.", "lg": "Gavumenti efuna omusolo okuva mu byobulambuzi buli mwaka." } }
{ "translation": { "en": "We are trying to find a solution to the leakage in the roof.", "lg": "Akasolya akatonnya tugezaako okukasalira amagezi." } }
{ "translation": { "en": "Everyone was working hard to prove their worth to the company.", "lg": "Buli omu yali akola nnyo okukakasa nti wa mugaso nnyo eri kampuni." } }
{ "translation": { "en": "Workers have not been paid for three months.", "lg": "Abakozi tebannasasulwa okumala emyezi esatu." } }
{ "translation": { "en": "Let us eat quietly.", "lg": "Leka tulye mu kasirise." } }
{ "translation": { "en": "Parliament approved all the ministers appointed by the president.", "lg": "Palamenti yakakasa baminisita bonna pulezidenti be yalonda." } }
{ "translation": { "en": "My mother covered the food before putting it on the stove to cook.", "lg": "Maama wange yabisse ku mmere nga tannagiteeka ku sigiri kugifumba." } }