translation
dict
{ "translation": { "en": "There was much bitterness during the two thousand one presidential elections.", "lg": "Waaliwo obukaawu bungi mu kiseera ky'okulonda kw'obwa pulezidenti okwa nkumi bbiri mu gumu." } }
{ "translation": { "en": "The government instructed truck drivers to carry only one passenger.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We are expecting a better performance in this year's sports competition.", "lg": "Tusuubira okukola obulungi mu mpaka z'ebyemizannyo omwaka guno." } }
{ "translation": { "en": "The arms trade is however highly secretive.", "lg": "Ensuubulagana y'ebyokulwanyisa ya kyama nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Is she the mother of your child?", "lg": "Ye maama w'omwana wo?" } }
{ "translation": { "en": "Uganda is a good country for one to start a business.", "lg": "Uganda nsi nnungi ey'okutandikiramu bizineesi." } }
{ "translation": { "en": "Every politician needs to be knowledgeable about their constituency.", "lg": "Buli munnabyabufuzi alina okuba ng'amanyi ebifa ku kitundu ky'akiikirira." } }
{ "translation": { "en": "Countries like the United Kingdom experience the winter season every year.", "lg": "Amawanga nga Obwakabaka bwa Bungereza gafuna ebiseera eby'obutiti buli mwaka." } }
{ "translation": { "en": "The pathways were created to allow movement through the crowd.", "lg": "Baateekawo amakubo okusobozesa abantu okutambula okuyita mu kibinja ky'abantu." } }
{ "translation": { "en": "People should engage in agribusiness.", "lg": "Abantu balina okwenyigira mu bulimi obw'ensimbi." } }
{ "translation": { "en": "Did you understand what he was teaching this afternoon?", "lg": "Wategedde kye yabadde asomesa ettuntu lya leero?" } }
{ "translation": { "en": "Most of the sports journalists in Uganda are males.", "lg": "Bannamawulire b'eby'emizannyo abasinga obungi mu Uganda basajja." } }
{ "translation": { "en": "They are implementing the project.", "lg": "Pulojekiti bagiteeka mu nkola." } }
{ "translation": { "en": "The site was beneficial to East African businesses.", "lg": "Ekifo kyali kya muganyulo eri bizinensi za Afirika ey'Obuvanjuba." } }
{ "translation": { "en": "The government should increase its tax base.", "lg": "Gavumenti erina okulinnyisa omusolo gwayo." } }
{ "translation": { "en": "She was unemployed for over three months.", "lg": "Yali talina mulimu okumala emyezi egisoba mu esatu." } }
{ "translation": { "en": "The court has not yet made a decision about the land issue.", "lg": "Kkooti tennasalawo ku nsonga y'ettaka." } }
{ "translation": { "en": "Companies are not supposed to employ people below eighteen years.", "lg": "Kkampuni teziteekeddwa kuwa bantu bali wansi wa myaka kkumi na munaana mirimu." } }
{ "translation": { "en": "People of lighter skin tones would be called mixed people.", "lg": "Abantu abeeru bandibadde bayitibwa ba musaayi mutabule." } }
{ "translation": { "en": "A travel ban was imposed on those officials.", "lg": "Abakungu abo baabateekako ekomo ly'okutambula." } }
{ "translation": { "en": "There was a global economic slowdown because of the coronavirus.", "lg": "Ebyenfuna mu ensi yonna byaddirira olw'akawuka ka corona." } }
{ "translation": { "en": "She wanted her son to be the king.", "lg": "Yali ayagala mutabani we abeere Kabaka." } }
{ "translation": { "en": "Presidential aspirant Bobi Wine said Kaggwa did his best.", "lg": "Avuganya ku bwa Pulezidenti Bobi Wine yagamba nti Kaggwa yakola ky'asobola." } }
{ "translation": { "en": "The leader created more enemies than friends.", "lg": "Omukulembeze yatondawo abalabe bangi okusinga emikwano." } }
{ "translation": { "en": "She was looking for a safe place to call home.", "lg": "Anoonya kifo kirungi okukuba essimu ewaka." } }
{ "translation": { "en": "The rotary team has organized an awareness program on breast cancer to educate the community on how to best prevent it.", "lg": "Tiimu ya lotale etegese pulogulaamu y'omusomo ku kkookolo w'amabeere n'okusomesa abantu engeri y'okumwewalamu." } }
{ "translation": { "en": "The wildlife authority is responsible for wildlife conservation in the region.", "lg": "Ekitongole ekikuuma ebisolo kivunaanyizibwa ku kukuuma ebisolo mu kitundu." } }
{ "translation": { "en": "Why would you build a small house?", "lg": "Lwaki wandizimbye ennyumba entono?" } }
{ "translation": { "en": "The Ugandan government introduced Universal Primary Education.", "lg": "Gavumenti ya Uganda yatandikawo Bonna Basome mu Pulayimale." } }
{ "translation": { "en": "The Kampala city festival was last held three years ago.", "lg": "Ekikujjuko ky'ekibuga Kampala kyasembayo kubaawo mu myaka esatu egiyise." } }
{ "translation": { "en": "She united leaders from other regions.", "lg": "Yagatta abakulembeze okuva mu bitundu ebirala." } }
{ "translation": { "en": "\"In the case of a short circuit, many parts can be damaged.\"", "lg": "Ebitundu bingi ebyonooneka singa amasannyalaze gaba gabiyiseemu." } }
{ "translation": { "en": "It is prestigious to have a city in your region.", "lg": "Kya kitiibwa okubeera n'ekibuga mu kitundu kyo." } }
{ "translation": { "en": "He wrapped a blanket around himself to keep him warm.", "lg": "Yeezingiriranga bbulangiti okusobola okubuguma." } }
{ "translation": { "en": "Talents are a blessing from God.", "lg": "Ebitone birabo okuva eri Katonda." } }
{ "translation": { "en": "How can I renew my driving permit?", "lg": "Nninza ntya obuggya dulayivingi ppamiti yange?" } }
{ "translation": { "en": "Taxi drivers were warned not to move past curfew time.", "lg": "Abavuzi ba zi takisi baalabulwa obutatambula ng'essaawa za kaafiyu ziyiseeko." } }
{ "translation": { "en": "The teacher asked the children to stop throwing stones on the roof.", "lg": "Omusomesa yasaba abayizi balekere awo okukasuka amayinja ku mabaati." } }
{ "translation": { "en": "Uganda was a British colony.", "lg": "Uganda lyali ttwaale lya Bungereza." } }
{ "translation": { "en": "The Sudanese are hopeful people.", "lg": "Abasudan bantu abalina essuubi." } }
{ "translation": { "en": "New political leaders are sworn into power.", "lg": "Bannabyabufuzi abaggya balayizibwa mu buyinza." } }
{ "translation": { "en": "Do you know how to ride a bicycle?", "lg": "Omanyi okuvuga eggaali?" } }
{ "translation": { "en": "Some cases linked to people from the Democratic Republic of Congo have been recorded in Uganda.", "lg": "Abalwadde abamu abalina akakwate ku Democratic Republic of Congo babaliddwa mu Uganda." } }
{ "translation": { "en": "He wants to learn how to milk cows.", "lg": "Ayagala kuyiga kukama nte." } }
{ "translation": { "en": "Our village football team reached the finals in last year's Christmas cup.", "lg": "Ttiimu yaffe ey'omupiira gw'ebigere yatuuka ku kamalirizo k'ekikopo ky'amazaalibwa ag'omwaka oguwedde." } }
{ "translation": { "en": "The local doctors should be considered for the jobs too.", "lg": "Abasawo b'awano be bandibadde baweebwa emirimu egyo." } }
{ "translation": { "en": "My brother speaks French fluently.", "lg": "Muganda wange/mwannyinaze ayogera bulungi Olufalansa." } }
{ "translation": { "en": "Some projects transform the lives of people.", "lg": "Pulojekiti ezimu zikyusa obulamu bw'abantu." } }
{ "translation": { "en": "All people leaving and accessing the hospital must wash their hands.", "lg": "Abantu bonna abafuluma n'abayingira eddwaliro balina okunaaba engalo zaabwe." } }
{ "translation": { "en": "They were arrested over the death of a five year old boy.", "lg": "Baagombwamu obwala ku nsonga z'okufa kw'omulenzi ow'emyaka etaano." } }
{ "translation": { "en": "She borrowed money from the bank to finance her wedding.", "lg": "Yeewola ssente mu bbanka okusobola okukola embaga ye." } }
{ "translation": { "en": "A soldier denied killing his wife.", "lg": "Omujaasi yeegaanye okutta mukyala we." } }
{ "translation": { "en": "Do children need to seek permision before going to play?", "lg": "Abaana beetaaga okufuna olukusa nga tebannagenda kuzannya?" } }
{ "translation": { "en": "People packed their luggage under the bus.", "lg": "Abantu baateeka emigugu gyabwe wansi wa bbaasi." } }
{ "translation": { "en": "Great effort deserves recognition and appreciation.", "lg": "Okukola ennyo kugwana okutenderezebwa n'okusiimibwa" } }
{ "translation": { "en": "Most of the kingdoms are very important in the earth's history.", "lg": "Obwakabaka obusinga obungi bwa mugaso nnyo mu byafaayo by'ensi." } }
{ "translation": { "en": "Which media company are you working for?", "lg": "Okolera mukutu ki ogw'ebyempuliziganya?" } }
{ "translation": { "en": "Many people have lost their jobs during this pandemic.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Rainwater is free.", "lg": "Amazzi g'enkuba ga bwereere." } }
{ "translation": { "en": "Land grabbing is common in communally owned societies.", "lg": "Ekibbattaka kyeyolekera nnyo mu ttaka ly'ebitundu." } }
{ "translation": { "en": "Our school has a variety of sports activities.", "lg": "Essomero lyaffe lirina eby'emizannyo ebitali bimu." } }
{ "translation": { "en": "Your favorite musician is on stage performing live.", "lg": "Omuyimbi wo gw'osinga okwagala ali ku siteegi ayimba butereevu." } }
{ "translation": { "en": "I have been listening to the radio since morning.", "lg": "Mbadde mpuliriza leediyo okuva ku makya." } }
{ "translation": { "en": "The program targets student leaders who will be nurtured and groomed in leadership.", "lg": "Pulogulamu etunuulidde abakulembeze b'abayizi abanaakuzibwa era ne bateekebwateekebwa mu bukulembeze." } }
{ "translation": { "en": "Students want to apply their skills in business.", "lg": "Abayizi baagala okukozesa obukugu bwabwe mu bizinensi." } }
{ "translation": { "en": "People compared it to the Undertakers' entry into the world of wrestling entertainment.", "lg": "Abantu baakigeraageranyizza ku nnyingira ya Undertaker mu muzannyo gw'ekigwo ekizungu." } }
{ "translation": { "en": "The local community benefits when away fans come to watch football.", "lg": "Ekitundu kiganyulwa ng'abawagizi abakyadde bazze okulaba omupiira." } }
{ "translation": { "en": "\"As the wind blew, the leaves kept falling off the tree.\"", "lg": "\"Embuyaga bwe yakuntanga, ebikoola byavanga ku muti bwe bigwa wansi.\"" } }
{ "translation": { "en": "People fear to wed because of the huge costs incurred.", "lg": "Abantu batya okukola embaga olw'obuwanana bw'ensimbi ezeeetaagisa." } }
{ "translation": { "en": "Police was deployed at all border points.", "lg": "Poliisi zaateekebwa ku nsalo zonna." } }
{ "translation": { "en": "Infants are babies from birth to the age of one.", "lg": "Abawere be baana okuva nga y'akazaalibwa okutuuka ku mwaka gumu." } }
{ "translation": { "en": "We can achieve a lot of things if we work together.", "lg": "Tusobola okufuna ebintu bingi kasita tukolera awamu." } }
{ "translation": { "en": "Have we met before?", "lg": "Twasisinkanako?" } }
{ "translation": { "en": "The organization taught women how to handle finances and save for the future.", "lg": "Ekitongole kyasomesa abakazi engeri y'okukwatamu ebyensimbi n'okuterekera ebiseera by'omu maaso." } }
{ "translation": { "en": "What did you major in at the university?", "lg": "Wakuguka mu ki ku univasite?" } }
{ "translation": { "en": "Using improved input technologies has greatly improved farmers production at a low cost.", "lg": "Okukozesa tekinologiya omulongooseemu kitumbudde nnyo amakungula g'abalimi ku ssente entono." } }
{ "translation": { "en": "Many youths are searching for jobs.", "lg": "Abavubuka bangi banoonya mirimu." } }
{ "translation": { "en": "Court order must be respected.", "lg": "Ekiragiro kya kkooti kiteekwa okussibwamu ekitiibwa." } }
{ "translation": { "en": "\"Youths are more into crime, why?\"", "lg": "\"Abavubuka beenyigira nnyo mu misango, lwaki?\"" } }
{ "translation": { "en": "There is a bank in the trading center.", "lg": "Mu sitenseni waliwo bbanka." } }
{ "translation": { "en": "Someone seems to be cooking food.", "lg": "Waliwo afumba emmere." } }
{ "translation": { "en": "He woke up hungry because he did not eat supper yesterday.", "lg": "Yazuukuka muyala kubanga yali talidde kyaggulo." } }
{ "translation": { "en": "What challenges are faced by nursery bed operators?", "lg": "Kusoomoozebwa ki abakola mu mmerezo kwe basanga?" } }
{ "translation": { "en": "The cause of the disease is still unknown.", "lg": "Ekiviirako obulwadde tekinnategeerekeka." } }
{ "translation": { "en": "He still has charges against fourteen murdered people.", "lg": "Akyalina emisango egikwata ku bantu ekkumi n'abana abatemulwa." } }
{ "translation": { "en": "All workers attended a meeting chaired by their boss.", "lg": "Abakozi bonna baazze mu lukiiko olwakubiriziddwa mukama waabwe." } }
{ "translation": { "en": "I want to go for further studies.", "lg": "Njagala kweyongerayo okusoma." } }
{ "translation": { "en": "There is prolonged detention of prisoners.", "lg": "Abasibe bakuumirwa mu kkomera okumala ebbanga ddene." } }
{ "translation": { "en": "How do l start a small-scale fish farm?", "lg": "Ntandika ntya eddundiro ly'ebyennyanja ettonotono?" } }
{ "translation": { "en": "Victims are fined with goats to handle their issues regarding gender based violence.", "lg": "Abakosebwa batanzibwa embuzi okukola ku nsonga zaabwe ezikwata ku bukuubagano obusinziira ku kikula." } }
{ "translation": { "en": "The contestants were mainly females.", "lg": "Abaavuganya okusinga baali bakazi." } }
{ "translation": { "en": "He attempted to commit suicide.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "Hospitals lack medical personner and treatment is lacking.", "lg": "Amalwaliro tegalina basawo bakugu n'obujjanjabi bubulamu." } }
{ "translation": { "en": "\"It makes good visibility essential, especially during wet weather.\"", "lg": "Kisobozesa omuvuzi w'emmotoka okulaba obulungi nnaddala ng'enkuba ettonnya." } }
{ "translation": { "en": "He says he can supply three chairs per day.", "lg": "Agamba asobola okusuubuza entebe ssatu buli lunaku." } }
{ "translation": { "en": "The scriptures talk a lot about the nature of God.", "lg": "Ebyawandiikibwa byogera nnyo ku ngeri ya Katonda." } }
{ "translation": { "en": "Parents should try to understand and show compassion to their children.", "lg": "Abazadde bagezeeko okutegeera n'okulaga okusaasira eri abaana baabwe." } }
{ "translation": { "en": "nan", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "I am going to the studio this afternoon.", "lg": "Ŋŋenda mu situdiyo olweggulo lwa leero." } }
{ "translation": { "en": "We have successfully done market research for our new product.", "lg": "Tumalirizza okunoonyo akatale k'ekyamaguzi kyaffe ekipya." } }