translation
dict
{ "translation": { "en": "They need to change their attitude.", "lg": "Beetaaga okukyusa endowooza yaabwe." } }
{ "translation": { "en": "Kaggwa also served as a representative of Uganda in the East Africa Legislative Assembly.", "lg": "Kaggwa era yaweereza nga omubaka wa Uganda mu paalamenti yobuvanjuba." } }
{ "translation": { "en": "The demand for coffee has decreased.", "lg": "Obwetaavu bw'emwaanyi bukendedde." } }
{ "translation": { "en": "Being an active member of the ruling party in Uganda guarantees a ministerial promotion.", "lg": "Okubeera omukozi ennyo mu kibiina ekifuga mu Uganda kikukakasa okusuumuusibwa ku bwa Minisita" } }
{ "translation": { "en": "Her father has been in prison for six months awaiting his trial.", "lg": "Kitaawe abadde mu kkomera okumala emyezi mukaaga ng'alindirira okuwozesebwa." } }
{ "translation": { "en": "This is what is happening now.", "lg": "Kino kye kigenda mu maaso kati." } }
{ "translation": { "en": "My little nephew likes playing with toy cars.", "lg": "Omujjwa wange ayagala okuzannyisa obumotoka." } }
{ "translation": { "en": "Health workers will be equipped with skills to fight off the Ebola virus.", "lg": "Abasawo bajja kuweebwa obukugu okulwanyisa ekirwadde ky'akawuka ka ebola." } }
{ "translation": { "en": "Uganda exports a lot of coffee these days.", "lg": "Ennaku zino Uganda etunda emmwanyi nnyingi ebweru w'eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "The war fights were intense.", "lg": "Okulwanagana kw'olutalo kwali kwa maanyi." } }
{ "translation": { "en": "The current protocol on the free movement of vehicles will change next month.", "lg": "Enkola kati eriwo ekkiriza emmotoka okutambula kyere ejja kukyuka omwezi ogujja." } }
{ "translation": { "en": "I bought a new notebook.", "lg": "Nnagula akatabo akapya omw'okuwandiika ebintu byange." } }
{ "translation": { "en": "The players will be able to play in the Uganda Cup.", "lg": "Abazannyi bajja kusobola okuzannya mu Uganda Cup." } }
{ "translation": { "en": "That bank is wholly owned by the government.", "lg": "Bbanka eyo ya gavumenti bwa nnamunigina." } }
{ "translation": { "en": "Cancer is one of the most dangerous diseases in the world.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "When a case is settled at mediation it's different from a normal court case.", "lg": "Omusango bwe guggwera mu kuteesaganya gwawukana ku musango kkooti ogwa bulijjo.." } }
{ "translation": { "en": "What was written in the papers about the group is not true.", "lg": "Ebyawandiikibwa mu mpapula ku kibinja si bituufu." } }
{ "translation": { "en": "That dog will bite you if you do not stop disturbing it.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The government donates animals and rice to Moslems across the country.", "lg": "Gavumenti egaba ebisolo n'omuceere eri abasiraamu okwetooloola eggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Why does Uganda People's Defense Force send troops to Somalia?", "lg": "Lwaki eggye lya Uganda lisindika abajaasi e Somalia?" } }
{ "translation": { "en": "Parents should work hard to provide basic needs for their girl children.", "lg": "Abazadde bateekeddwa okukola ennyo okuwa abaana baabwe ab'obuwala ebyetaago ebikulu." } }
{ "translation": { "en": "The friends opened up the coffin and the bride was happy and posing.", "lg": "Emikwano gyaggula essanduuko ng'omugole omukyala mwali musanyufu ateredde." } }
{ "translation": { "en": "He had heard all this over the radio and looked for leaders to register him.", "lg": "Bino byonna yabiwulirira ku leediyo era n'alindirira abakulembeze okumuwandiisa." } }
{ "translation": { "en": "He decided to open up a new church.", "lg": "Yasazeewo okuggulawo ekkanisa empya" } }
{ "translation": { "en": "Over thirty seven people were victims of the shooting.", "lg": "Abantu abasukka mu amakumi asatu mu musanvu be baakubibwa amasasi." } }
{ "translation": { "en": "Boda Bodas is a faster means of transport compared to vehicles.", "lg": "Entambula ya bodaboda eyanguya okusinga ey'e mmotokka." } }
{ "translation": { "en": "It was the grand opening of the new taxi park.", "lg": "Kwe kwali okuggulawo ppaaka ya ttakisi empya mu butongole." } }
{ "translation": { "en": "Some things are not what they seem to be.", "lg": "Ebintu ebimu tebiri nga bwe birabika kuba." } }
{ "translation": { "en": "The detective spent twelve hours interrogating the suspects about the stolen car.", "lg": "Mbega yamala essaawa kkumi na bbiri ng'asoya abateeberezebwa ebibuuzo ku mmotoka enzibe." } }
{ "translation": { "en": "The troops were often forced to communicate by hand gestures.", "lg": "Amagye ebiseera ebisinga kyabakakanga okukozesa obubonero bw'emikono." } }
{ "translation": { "en": "\"Don’t lose hope, everything will be fine.\"", "lg": "\"Toggwaamu ssuumi, ebintu bijja kutereera.\"" } }
{ "translation": { "en": "Almost every guest at the dinner party had a car.", "lg": "Kumpi buli mugenyi eyabadde ku kabaga yabadde alina emmotoka." } }
{ "translation": { "en": "The minister ordered the arrest of the journalist who captured the story.", "lg": "Minisita yalagira okukwatibwa kwa munnamawulire eyakola eggulire." } }
{ "translation": { "en": "The community leaders called for a peace talk to solve the ongoing conflict.", "lg": "Abakulembeze b'ekitundu baasaba wabeewo okuteseeganya okusobola okugonjoola okulwanagana okugenda mu maaso." } }
{ "translation": { "en": "She is a very creative person.", "lg": "Muntu muyiiya nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Do you have access to the hospital?", "lg": "Olina obusobozi obutuuka ku ddwaliro?" } }
{ "translation": { "en": "She started going to school at the age of three years.", "lg": "Yatandika okusoma ku myaka esatu." } }
{ "translation": { "en": "He was arrested for his crimes.", "lg": "Yakwatibwa olw'emisango gye." } }
{ "translation": { "en": "A few people still live in houses built out of the mud.", "lg": "Abantu batono abakyabeera mu mayumba ag'obudongo." } }
{ "translation": { "en": "Police stressed the need to discourage the use of military attire by people.", "lg": "Poliisi yalaga obwetaavu bw'obutakkiriza bantu kukozeza byambalo by'amaggye." } }
{ "translation": { "en": "Many people working for the government have left and joined the private sector.", "lg": "Abantu bangi abakolera gavumenti balekulidde ne beegatta ku bitongole by'obwannannyini." } }
{ "translation": { "en": "Individualism is not good.", "lg": "Obwannamunigina si bulungi." } }
{ "translation": { "en": "The public has been challenged to stay calm.", "lg": "Abantu bakubiriziddwa okusigala nga bakkakkamu." } }
{ "translation": { "en": "Paying the bride price in some cultures is believed to connect families for a lifetime.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "We are almost getting done with breakfast.", "lg": "Tunaatera okumaliriza okunywa caayi." } }
{ "translation": { "en": "More anti-United Nations protests in the Democratic Republic of Congo.", "lg": "Obwegugungo obuwakanya amawanga amagatte bweyongera mu Democratic Republic of Congo." } }
{ "translation": { "en": "My eldest son loves listening to music.", "lg": "Mutabani wange omukulu ayagala nnyo okuwuliriza ennyimba." } }
{ "translation": { "en": "That company has very few workers.", "lg": "Kkampuni eyo erina abakozi batono nnyo." } }
{ "translation": { "en": "Churches have been reopened after a long time under lockdown.", "lg": "Kkanisa zigguddwawo oluvannyuma lw'ebbanga eddene nga ziri ku muggalo." } }
{ "translation": { "en": "She allowed me and my parents to stay in her house.", "lg": "Nze ne bazadde bange yatukkiriza okubeera mu nnyumba ye." } }
{ "translation": { "en": "Mobile money service is the most convenient fund transfer system among people.", "lg": "Obuweereza bw'okuweerereza ssente ku ssimu bwe bukyasinze okwanguyiza abantu okutambuza ssente." } }
{ "translation": { "en": "His death was sudden and unexpected.", "lg": "Okufa kwe kwajja mbagirawo nga tekusuubirwa." } }
{ "translation": { "en": "Her house was the center of activity on nomination day.", "lg": "Kaali keetalo mu makaage ku lunaku lw'okusunsulamu abeesimbyewo." } }
{ "translation": { "en": "The matter has been resolved.", "lg": "Ensonga egonjoddwa." } }
{ "translation": { "en": "Most Ugandans are asking whether Besigye will again challenge Museveni for the fifth time.", "lg": "Bannayuganda abasinga babuuza oba Besigye ajja kuvuganya Museveni omulundi ogwokutaano." } }
{ "translation": { "en": "It is estimated that Uganda had approximately seventy-three million heads of cattle.", "lg": "Kiteeberezebwa nti Uganda yalina ente obukadde nsanvu mu busatu." } }
{ "translation": { "en": "Trees provide food and homes for many birds.", "lg": "Emiti giwa ebinyonyi bingi emmere n'awokusula." } }
{ "translation": { "en": "What are the benefits of eating papaya?", "lg": "Birungi ki ebiri mu kulya amapaapaali?" } }
{ "translation": { "en": "The leaders wanted to know why they were suspended.", "lg": "Abakulembeze baali baagala kumanya lwaki baayimirizibwa." } }
{ "translation": { "en": "He disagreed with his wife.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The minister called upon us to unite and live harmoniously.", "lg": "Minisita yatusabye okukwatagana tubeere mu mirembe." } }
{ "translation": { "en": "Bribes cannot buy votes in politics.", "lg": "Enguzi tesobola kugula bululu mu byobufuzi." } }
{ "translation": { "en": "\"Whenever health workers go on strike, it is mainly the patients who suffer.\"", "lg": "\"Buli abasawo lwe beediima, abalwadde be basinga okukosebwa.\"" } }
{ "translation": { "en": "The class teacher read out the register.", "lg": "Omusomesa akulira ekibiina yasoma amannya g'abayizi." } }
{ "translation": { "en": "The community should learn to welcome projects being introduced/", "lg": "Abantu mu bitundu balina okuyiga okwaniriza puloojekiti ezireeteddwa." } }
{ "translation": { "en": "It takes a long time for the court cases to be resolved.", "lg": "Emisango gitwala ebbanga ddene nga teginnakolwako." } }
{ "translation": { "en": "Where are you coming from?", "lg": "Ova wa?" } }
{ "translation": { "en": "All year out watering of the crop is one technique that will be adopted.", "lg": "Okufukirira ebirime okumala emyaka gyonna ke kamu ku bukodyo obujja okuteekebwa mu nkola." } }
{ "translation": { "en": "That chair is weak.", "lg": "Entebe eyo nnafu." } }
{ "translation": { "en": "I woke up when it was already broad daylight.", "lg": "nan" } }
{ "translation": { "en": "The number of pregnancies has risen greatly.", "lg": "Omuwendo g'embuto gulinnye nnyo." } }
{ "translation": { "en": "He followed up a diploma in legal practice at the Law Development Centre.", "lg": "Yagoberezaako dipulooma mu by'amateeka ku Law Development Centre." } }
{ "translation": { "en": "The activists want sexual abuse and violence against women and girls to stop.", "lg": "Abalwanirizi b'enkyukakyuka okukabasanya n'okutulugunya abakyala n'abawala bikome." } }
{ "translation": { "en": "Many people do not comfortably pay taxes.", "lg": "Abantu bangi tebasasula misolo mu mirembe." } }
{ "translation": { "en": "We need to be united in christ so we can live holy lives", "lg": "Twetaaga okuba obumu mu Krisito tusobole okubeera mu bulamu obutukuvu." } }
{ "translation": { "en": "There are some concerning issues with our law system", "lg": "Waliwo ensonga ezimu ezeekuusa ku nkola y'amateeka gaffe." } }
{ "translation": { "en": "We went through all the security checkpoints.", "lg": "Twayita mu bifo byonna ab'ebyokwerinda we bateeka okukebera." } }
{ "translation": { "en": "The exam was very hard.", "lg": "Ekibuuzo kyali kikakali." } }
{ "translation": { "en": "The donations are not sufficient to cater for the high number of refugees.", "lg": "Obuyambi tebumala kuyimirizaawo omuwendo gw'abanoonyiboobubudamu omunene." } }
{ "translation": { "en": "These clubs employ many other people apart from players.", "lg": "Ttiimu ziwa abantu abalala abangi emirimu ng'oggyeko abazannyi." } }
{ "translation": { "en": "We received over one hundred applications for the same job.", "lg": "Twafuna abantu abasukka mu kikumi abaawaayo okusaba kwabwe ku mulimu gwe gumu." } }
{ "translation": { "en": "Peace and stability are important in every country.", "lg": "Eddembe n'obutebenkevu bya mugaso mu buli ggwanga." } }
{ "translation": { "en": "Players shouldn't be used as tools of work.", "lg": "Abazannyi tebateekedwa kukozesebwa nga byuma." } }
{ "translation": { "en": "We should embark on informing people and encouraging them to vaccinate", "lg": "Tulina okwenyigira ku ky'okutegeeza abantu n'okubakubiriza okugema" } }
{ "translation": { "en": "\"Obey the law, and you shall have no issues with the police.\"", "lg": "Gondera amateeka oleme kubeera na nsonga na poliisi." } }
{ "translation": { "en": "Please make sure that the bride and groom arrive early at church this Saturday.", "lg": "Bambi kakasa nti omugole omusajja n'omukazi batuuka mangu ku kkanisa olwomukaaga luno." } }
{ "translation": { "en": "I want to look very beautiful on my wedding day.", "lg": "Njagala ndabike bulungi nnyo ku mbaga yange." } }
{ "translation": { "en": "Someone stole food from our garden.", "lg": "Waliwo eyabbye emmere okuva mu nnimiro yaffe." } }
{ "translation": { "en": "That supermarket is open twenty-four hours a day.", "lg": "Ssemaduuka eyo ebeera nzigule essaawa abiri mu nnya olunaku." } }
{ "translation": { "en": "The government allocated more funds for the health sector during the pandemic.", "lg": "Gavumenti yateeka ssente endala mu kitongole ky'ebyobulamu mu biseera by'ekirwadde ky'ekikungo." } }
{ "translation": { "en": "There should be a way to check if the deadlines have been met.", "lg": "Walina okubaawo engeri y'okukakasaamu obanga emirimu gimaliriziddwa mu budde." } }
{ "translation": { "en": "Is it true that no one is above the law?", "lg": "Kituufu nti teri n'omu ali waggulu w'amateeka?" } }
{ "translation": { "en": "She knert down as a way of expressing her gratitude.", "lg": "Yakufukamidde ng'engeri y'okulagamu okusiima kwe." } }
{ "translation": { "en": "Nation resources are rightfully accessed by nationals.", "lg": "Bannansi bafuna ebyetaago mu ngeri entuufu." } }
{ "translation": { "en": "The water standards were approved by the National bureau of Standards.", "lg": "Omutindo gw'amazzi gwa kakasibwa ekitongole kya National bureau of Standards." } }
{ "translation": { "en": "Our pharmacists will inform the public about how hardened some diseases are to drugs.", "lg": "Abakugu mu by'eddagala bajja kutegeeza abantu engeri eddagala gye litasobola kukola ku ndwadde ezimu." } }
{ "translation": { "en": "He planted oranges and pawpaw trees at the side of his plantation.", "lg": "Yasimba amapaapaali n'emicungwa ku mmabali g'olusuku lwe." } }
{ "translation": { "en": "My grandmother died at ninety-nine years.", "lg": "Jjajjange omukazi yafiira ku myaka kyenda." } }
{ "translation": { "en": "A new medical kit has been launched in Uganda", "lg": "Akasanduuko k'ekisawo akapya katongozeddwa mu Uganda" } }
{ "translation": { "en": "His children are all successful.", "lg": "nan" } }